Amawulire

E Nalufenya teri kutulugunya-Mudenya

Ali Mivule

June 19th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omu ku baakwatibwa ku musango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi awolerezza abapoliisi ye Nalufenya nti teri kutulugunya.

Asuman Mudenya nga mutuuze ku kyalo Mwezi yakwatibwa nga Kaweesi kyajje atibwe.

Oluvanyuma lw’okuyimbulwa, Mudenya agamba bweyali ku poliisi eno okumala emyezi 2 mpaawo yamutulugunya nga era atwala poliisi eno Tyson Lutambika buli wiiki yali amubuuza oba alina ekizibu kyonna.

Mudenya nga asinziira mu makage era ategezezza nga omubaka wa Bunya south Member of Parliament James Majegere bweyamuyamba okukwasaganya aboluganda lwe n’ayimbulwa.

Mudenya era akyegaaana okubeera n’akakwate ku kutibwa kwa Kaweesi kubanga baayaza enyumbaye yonna awatali kuauula kissi kyonna nga bwekyali kiteberezebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *