Amawulire

E Mpigi poliisi ekutte 19 lwa kuyuza bipande bya besimbyewo

E Mpigi poliisi ekutte 19 lwa kuyuza bipande bya besimbyewo

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2021

No comments

Bya Mbogo Sadat,

Abantu 19 bebakwatiddwa poliisi, mu district y’e Mpigi ku bigambibwa nti babadde bagenda bayuza ebipande bya munna-NRM Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.

Abakwate kigambibwa nti babaddnga bayuza nebinene, oba billboard nga babikumako omuliro.

Bano bajjiddwa ku byalo Mbizzinya, Mitalamaria, Buwama, Nabusanke ne Kayabwe nga kigambibwa nti waliwo n’ebibaluwa bikiro kitwala omunaku byebazze bawandikira abawagizi ba NRM nebabibasuulira.

Atwala poliisi y’e Buwama Albert Natumanya atubuulidde nti abakwate bakuumibwa mu buduukulu okuli ak’e Buwama n’e Mpigi ng’okubanonyerezaako kukyagenda mu maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *