Amawulire
E mpigi abaana abakeera mu butale bakukwatibwa.
Bya Mbogo Sadat.
Omubaka wa president e Mpigi Hajji Swaibu Lubega alagidde abakulembeze mu bitundu bino okuyambako police batandike okukwata abaana abataayaaya nga tebasoma nadala mukade kano akokusoma.
Omukulu ono okwogera bino abadde Buwama ku gombolola bw’abadde ayogerako n’abamu ku batuuze abamuloopedde nga abaana abali wansi w’emyaka 14 bwebasusse ku makubo e Kayabwe, Mbizzinnya, Kamengo ne Mpigi Town Council .
Mukaseera kano abaana abawerera ddala nga 6,000 e Mpigi beebatunda ebintu ku makubo ne mu butale obw’enjawulo kyokka nga abasinga abazadde baabwe beebabasindikayo okunonya ku nsimbi.
Hajji Wagwa agambye keekaseera bonna bakwatibwe.