Amawulire

E Mayuge omusajja asse munne olw’omukazi

E Mayuge omusajja asse munne olw’omukazi

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district Mayuge ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 38 olwokutta munne lw’omukazi.

Wahidi Byaruhanga kigambibwa nti yakozesezza ejambiya natematema munne Paul Jakol omutuze ku kyalo Namoni mu gombolola ye Malongo e Mayuge.

Poliisi egamba nti omusajja ono abaddenga alumiriza omugenzi okuganza omukazi naye gwabadde aganza.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Mayuge Rogers Kapere agambye nti ono bamuyigga, asimbibwe mu kooti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *