Amawulire

E Makerere kwekalakaasa

Ali Mivule

February 11th, 2013

No comments

Abayizi e Makerere basazeewo okweyiwa ku nguudo beekalakaase olw’engeri gyebasasulamu fiizi.

Ettendekero ligamba nti omuyizi alina okusasula ebitundu 60% ku kikumi eza fiizi,abayizi kyebawakanya.

Bano nga bakutte ebipande kko n’ematabi g’emiti obwedda bayita ku nguudo z’omu university ne mu bisulo okulaga obutali bumativu.

Wabula omwogezi w’ettendekero lino, Ritah Naisango agamba nti kino bakitesaako mu lukiiko lwa wamu nga tebayagala kulagira bayizi kubasaba fiizi zonna ku lunaku olusooka.

Ono era agamba nti amyuka ssenkulu, Omw.Ddumba Ssentamu amaze okusaba abayizi owkemulugunya kwaabwe bakusse mu buwandiike olwo balabe webatandikira okukola ku kwemulugunya kw’abayizi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *