Amawulire

E Makerere gawuni z’abaana ziwedewo

E Makerere gawuni z’abaana ziwedewo

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Nga  ebula enaku ntono Makerere etandike okutikira abaana sabiiti ejja, tukitegedeko nti eby’ambalo byabaana bano bifuuse by’abbula.

Kinajukirwa nti amatikira gano ag’omulundi ogwe 69 gakutandika nga 15th  okutuuka nga 18th wabula nga abaana bonna balina okugula gawuni  ezakoleddwa e Makerere.

Twogedeko n’abayizi abagenda okutikirwa nebatutegeeza nti basiibe beewuba Makerere okufuna gawuni zino , wabula nga babategeeza kimu nti balinde ziwedewo

Twogedeko n’amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe naagamba nti ensonga eno ekoledwako kale nga abaana baddembe okutandika okuzikima

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *