Amawulire

E Kibuli beekalakaasa

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

kibuli

Abatuuze mu  zooni ya  Kanakulya  e Kibuli beesuddemu akambayaaya ne beekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze.

Bano bagamba kati wiiki ziweze 2 nga bali mu kibululu oluvanyuma lwa tulasifooma  okufunamu obuzibu.

Bano bazibye oluguudo lwa  Kakungulu era emotoka tezikyatambula nga wazzewo n’omugotteko.

Okusanyalala kw’ebyentambula kukosezza  ssabadumizi wa poliisi  Gen Kale Kaihura  n’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu  Rebecca Kadaga nga oluseregende lw’emotoka zaabwe ezibawerekera zibadde tezisobola kutambula