Amawulire

E kanisa ya uganda yakuyambako Gavt mu kulwanyisa covid

E kanisa ya uganda yakuyambako Gavt mu kulwanyisa covid

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ssabalabirizi wékanisa ya Uganda Dr Steven Kazimba Mugalu, agamba nti ekanisa neetegefu okuyambako gavumenti okuteeka munkola ebiragiro ebijja ebyayisiddwa okulwanyisa ekirwadde kya covid-19.

Olunaku lweggulo omukulembeze weggwanga yayimiriza okusaba mu bifo ebyolukale ne mu makanisa ne mizikiti okumala ennaku 42 mu kawefube owokulwanyisa ekirwadde ekyongedde okusensera mu bannauganda.

Mu kwogerako ne bannamawulire nga asinzira mu makage e Namirembe, Dr Kazimba agambye nti ekanisa teyagaddwa wabula ebizimbe bye byagaddwa kuba e kanisa baba bantu okusinzira ku bayibuli, bwatyo akubiriza abakkiriza okusigala nga basabira mu maka gaabwe nasaba ba taata okukulemberamu famile zaabwe mu kusaba kuno.

Dr Kazimba era agamba nti bwegwali mu muggalo ogwasooka ne ku mulundi guno ekanisa ya Uganda yakusigala nga ekulemberamu okusaba nokusinza okuyita mu mikutu gya mawulire nomutimbagano

Akubiriza abakulembeze mu makanisa okuteekesa munkola ekiragiro kino kulwo bulungi bwa bantu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *