Amawulire

Dr. Kiyingi bamujjeeko egy’obutujju

Dr. Kiyingi bamujjeeko egy’obutujju

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita ajjeewo emisango gyobutujju, ku omusawo munn-Uganda awangaliira mu Austria Dr. Aggrey Kiyingi nabalala 2 bwebabadde bavunanibwa olwokulemererwa okumukwata.

Kino kidiridde omuwaabi wa gavumenti mu musango gwa ssabayekera wa ADF Jamilu Mukulu, nga ye John Baptist Asiimwe okuleeta empaaba eyakoleddwamu ennongosereza eraze nti abavunanwa 3 babejerezza ate abalala 2 nebongerwako omugatte nebawera 38.

Omulamuzi Eva Luswata ategezeddwa nti Dr. Aggrey Kiyingi, Muzafar Kaule ne Sheikh Swaliden  Baligeya emisango jibajiddwako okutuusa lwebali kwatibwa.

Ate Jamilu Mukulu nabalala 37 okuli omukazi bebasigadde ku misango gyobutujju, obutemu, egyokutyoboola eddembe lyobuntu, okukuba obwa kkondo nokuseesa mu bikolwa ebyobutujju.

Bano era bavunanibwa nokwokya abaana aku ttendekero lya Kichwamba Techinical institute mu 1998, ekitta basiraamu wakati wa 2015 ne 2016 nobutemu obwakolebwa ku basirikale ba poliisi 2 e Bugiri mu Busoga.

Abavunanwa olwaleero balabiseeko mu kooti, omusango negwongezebwayo okutukira ddala nga August 15th 2018.