Amawulire

DP yekutuddemu-Mao agobye abamu

Ali Mivule

April 2nd, 2013

No comments

Mao suspends officials

Ebya DP bikyaali biwanvu ng’ olwaleero ssenkaggale wekibiina  Norbert Mao ayimirizza bunambiro  omwogezi wekibiina  Kenneth Paul Kakande  nga ono alangibwa kwefuula nampulira zzibi nategeka tabamiruka wekiwayi kyabavubuka ekya

Ono   mungeri yeemu alabudde nomubaka omukyala akikirira district ye luweero Brenda nabukenya , sam muyizi, john mary ssebuufu  nga kwogasse namyuuka loodi meya wa kampala Suleiman Kidandala  , nga bano nabo beefudde banantagambwako mu kibiina nebatuuka nokumenya amateeka nebiragiro bye kibiina

Mao era agamba nti waliwo nabakulembeze bebibiina ebirala abageezzako okutabulatabula ekibiina.

Yyo Poliisi Yasoose kwebulungulula ofiisi z’ekibiina kya DP.

Abavubuka abakulebeddwaamu David SSerunjogi bagamba nti tebagenda kuddamu kukkiriza ba bavubuka balala abakulemberwa Kenneth Paul Kakande okulinnya ku kitebe ky’ekibiina.

Aduumira poliisi ya CPS, James Ruhweza agamba nti tebagenda kuva mu kitundu kino okutuusa nga bakakasizza nti emirembe gibukadde

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *