Amawulire

Deo Akiki musanyufu olw’okukuzibwa

Deo Akiki musanyufu olw’okukuzibwa

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omumyuka w’omwogezi wamagye ge gwanga Col Deo Akiiki atenderezza ekyakoleddwa omuddumizi wamagye ge gwanga, owokuntikko okumulabamu obusobozi namukuza.

Akiiki yoomu ku bajaasi abakuziddwa omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni nga yavudde ku nyota eya Lt Col okufuuka col ajudde.

Abajaasi 1,393 bebakuziddwa, nga wabadde wakayita mbale era pulezidenti Museveni bweyakuza abajaasi 40 okudda ku nyota eza general.

Bwabadde ayogerako naffe, Col Akiiki agambye nti okukuzibwa kuno kujja n’obuvunayizibwa wabula asubizza nti mumalirivu okuwereza.

Abajaasi 106 bebakuziddwa okuva ku ddaala lya Lt Col okudda ku ddaala lya Col, abajaasi 191 okuva ku Major okudda ku Lt Col, 173 okuva ku captain okudda ku Major nabajaasi 458 nebakuzibwa okuva ku Lieutenant okudda ku captain.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *