Amawulire

CID enonyereza ku ku Banka enkulu

CID enonyereza ku ku Banka enkulu

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Ekitongole kya Poliisi ekivunanyizibwa ku kunoonyereza ku misango ekya Criminal Investigation Directorate kibakanye nokunonyerezza ku kubigambibwa nti waliiwo ensiimbi zakuno ezakubwa mubukyamu nengeri gyekyakolebwamu.

Okunonyerezza kuno ku kulembedwamu akuliira ekitongole kya police ekinonyerezza ku misango AIGP Akulo Grace nga ayambibwako akuliira  akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Lt. Col. Edith Nakalema.

Sitetimenti ez’enjawulo zigyidwa ku bakungu ab’enjawulo omuli abakuliira bank,banamateeka bekibiina kyamawanga amagatte ekitongole ekiwooza ky’omusolo n’ebirala binji.

Fred Enanga ssekamwa wapolice yegwanga lino ategezezza nga abantu 6 bebakakwatiibwa kunsonga ziino.

Kinajjukirwa olw’okusatu lwa sabiiti ewedde akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga nga kakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema kalumba Bbanka enkulu ey’eggwanga nekakwata ba Directors abaweraako  okuyamba kukunoonyereza kubigambibwa nti bakuba ssente   ezensusuuba   nga negyenuli kati omuwendo gw’ensimbi ez’ogerwako tegunaba kakasiibwa.