Amawulire

Chebet Maikut afudde

Chebet Maikut afudde

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Kamisona avunanyizibwa ku nkyukkyuka y’obudde mu ministry y’obutonde bwensi, Chebet Maikut afudde.

Maikut afiridd mu ddwaliro mu district ye Kapchorwa, gyebabadde bamututte okujanjabibwa ekimbe.

Minister omubeezi owobutonde bwensi Dr Mary Goretti Kitutuyaksisizza okufa kwaChebet Maikut, era agambye nti entekateeka zigenda mu maaso omulambo okugujjayo baguleete mu ddwaliro ekkulu e Mbale okwongera okwekebejebwa.

Ategezezza nti ddala egwanga lifiriddwa omuntu abadde omukozi ate afaayo ennyo ku buttoned bwensi, nokulwanyisa akatyabaga akajjira mu nkyukakyuka yobudde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *