Amawulire

Byanyima asubizza nga yakalondebwa okulira UNAIDS

Byanyima asubizza nga yakalondebwa okulira UNAIDS

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ssenkulu wekitongole kya UNAIDS omugya Winnie Byanyima agamba nti ayanirizza okulondebwa kwe era tanyoomye yadde, obudde wekujidde.

Ono nga yabadde akulira OXFAM wabula yalondeddwa ssabawandiisi wekibiina kyamawanga amagatte Antonio Guterres.

Byanyima yagenda okudda mu bigere bya Micheal Sidibe eyalekulira mu May womwaka guno.

Byanyima alina obumanyirivu bwa myaka 30 mu byobukulembeze ku mutendera gwensi yonna nokuyamba abantu.

Kati agambye nti agenda baakukolera wamu mu lutalo olwokulwanyisa ssiriimu, okumumalwo omwaka 2030 wegunatukira.

Asubizza nokwongera okulwanirira batalina bwogerere, okukuuma eddembe lyobuntu ngakozesa ekifokye kino.

Kati abantu bangi mu Uganda bamuyozayozezza, olwokulondebwa okukulira ekitongole kino, ekirwanyisa ssiriimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *