Amawulire

Byanyima asabye amawanga mu lutalo kumukeneya

Byanyima asabye amawanga mu lutalo kumukeneya

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2019

No comments

Bya Rita Kemigisha, Uganda olunaku olwaleero yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwakawuka kamukenenya ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte ekilwanyisa akawuka ka mukenenya ki UNAIDS kigamba nti abantu bakoze kyamaanyi nyo mu lutalo lwokulwanyisa akawuka ka kasirimu.

Akulira ekitongole kya UNAIDS Winnie Byanyima agamba nti abantu tebasanye kunyooma mulimu gukoledwa bannabwe mu kulwanyisa mukenenya.

Mu kiseera kino abantu obukadde 24 munsi yonna bebali ku ddagala lya kawuka songa ate buli wiiki bannauganda 500 bebafa siriimu n’abalala 1000 be bakwatibwa akawuka.

Byanyima agamba nti abantu babadde bafubye okuyambako bannabwe abalina akawuka nga bababuulira ekyokukola.

Wano wasabidde gavumenti zamawanga okwongeramu amaanyi mu kumanyisa abantu ebikwata ku kawuka nokuteeka ensimbi mu lutalo lwokulwanyisa akawuka.

Emikolo emikulu wano mu ggwanga gikuzidwa mu disitulikiti ye kayunga.