Amawulire

Byabakama musanyufu Kyagulanyi okugyayo omusango

Byabakama musanyufu Kyagulanyi okugyayo omusango

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sentebe wa kakiiko ke byokulonda omulamuzi Simon Byabakama asanyukidde ekya senkagale wekibiina ki NUP okugyayo omusango gwe byokulonda mu kkooti.

Byabakama bino abyogedde asisinkanyemu ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ake byamateeka okuwaayo endowoozaye ku nnongosereza mu ssemateeka

Byabakama agambye nti ekya Robert Kyagulanyi okugyayo omusango mu kkooti kyalaze nti akakiiko ke byokulonda kakola omulimo amatendo mu kutegeka okulonda okwamazima nobwenkanya.

Byabakama agaanye okubako kyayogera ku foomu Kyagulanyi zeyalaze eggwanga olunaku lweggulo nga ziraga nga bweyawangula okulonda kubwa pulezidenti ne bitundu 54.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *