Amawulire

Buli maka gakufuna enkumbi 3- Museveni

Buli maka gakufuna enkumbi 3- Museveni

Ali Mivule

November 21st, 2015

No comments

File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu

File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu

Pulezidenti Museveni alagidde nti buli maka gaweebwe enkumbi ssatu okuyamba okwongera ku mmere erimwa buli maka.

Enkumbi zino eziweza obukadde 18 zigenda eri amaka agaweza obukadde mukaaga okwetoloola eggwanga.

Pulezident alagidde nti ensimbi ezigula enkumbi zino zissibwa mu mbalirira y’eggwanga era nga mu ngeri yeemu n’olukiiko lwa ba minisita lutegeezeddwa ku nsonga eno.

Ono era alagidde nti n’obukwakkulizo obussibwa ku nsimbi eziwolebwa abalimi bulagayizibweemu okusobozesa abalimi okufuna byebagaala.

Pulezidenti era agambye nti bweyabadde mu kitundu kya West Nile, yenyamidde olw’obulwadde bwa Hepatitis B obuliyo era n’alagira abakulu mu gavumenti ye okubangula abantu ku bulwadde buno wamu n’okujjanjaba ababulina