Amawulire

Bukomansimbi ne Kassanda abayizi ba P7 bayise bulungi

Bukomansimbi ne Kassanda abayizi ba P7 bayise bulungi

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Magembe Ssabiiti ,

Akulira eby’enjigiriza mu district ye Bukomansimbi Patrick Zziwa ategeezezza nga Bukomansimbi bwekoze obulungi ku mulundi guno okusinga emyaka gyonna ejizze gibaawo.

Zziwa agamba nti newankubadde waaliwo okusomoozebwa, abayizi tekyabalobera kuteeka ssira ku kusoma nga kino kimuwadde essuubi nti eby’enjigiriza e Bukomansimbi byanditereera.

Zziwa ayongeddeko nti abayizi 111 ku bayizi 3804 abaawandiisibwa bebataasobola kukola bigezo nga kino kyareetebwa embeera ez’enjawulo omuli abaana okufuna embuto, abalala okufuna emirimu oluvannyuma lw’omuggalo ogwali ogwamaanyi n’ebirala.

Mungeri yemu ekitongole eky’eby’enjigiriza mu district y’e Kassanda kisengese engeri abaana gyebaakozeemu ebigezo   by’ekibiina eky’omusanvu ebyakolebwa mu gwokusatu omwaka guno ebiraze nga kumulundi guno abayizi bakola bulungi okusinga omwaka gwa 2019.

Omwaka oguwedde abaana 4810 bebeewandiisa okutuula ebigezo naye ku bbo abaana 111 tebatuula bigezo byabwe ate nga mu mwaka 2019 abaana abataatuula baali 183.

Akulira eby’enjigiriza mu district y’e Kassanda Hajj Abdul Lukooya Ssekabira, ategezezza nti district ku mulundi guno yafunye 1st Grades 369, 2nd Grades 2,580, 3rd Grades 772, 4th Grades 619 ate abayizi 359 tebaafunye ddaala lyonna.

Hajj Lukooya Ssekabira agambye nti era wabaddewo okweyongera mu nkola y’amasomero ga gavumenti agalimu enkola ya bonnabasome, kubanga ku mulundi guno gonna gaayisizza abaana ate ku bubonero obwa waggulu ddala.