Amawulire

Buganda evumiridde ettemu

Buganda evumiridde ettemu

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ekiwamba nekitta bantu ekirabika okuba nga kyazeemu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukiiko lwa Buganda nateeka poliisi ku nninga, ensonga eno okujitekamu amaanyi  okunonyereza okumalawo ettemu.

Kattikiro era asabye nti abantu bonna bebazze bakwata ku misango gino, nga tebabalinaako bujulizi babayimbule.

Wano atusizza okusasira kwe eri aba famile yomugenzi Maria Naggirinya neyomudereva Ronald Kitayibwa.

Mungeri yeemu abantu ba Ssabasajja basabiddwa okwettanira ebyobulimi n’obulunzi, mungeri yokulwanyisa ebbulya lyemirmu nobwavu.

Kinajjukirwa nti Omutanda bweyali aggulawo olukiiko olwomulundi ogwa 27, yalaga obwetaavu abantu be okukolera awamu okwekulakulanya.

Kati Kattikiro era agambye ng’obwakabaka webakyasibidde weewo, bawakanya entekateeka ya gavumenti eyokuwandiisa abalimi be mwanyi.

Kino agambye nti kigenda kukanga abalimi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *