Amawulire

Buganda evudeyo kubyókukuba bannamawulire

Buganda evudeyo kubyókukuba bannamawulire

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa,

Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku bantu abalala okuvumirira obukambwe bwa bakuuma ddembe bwe bolesa ku bannamawulire.

Kino kidiridde abakuuma ddembe okuwewenyula bannamawulire abaali bagenze okusaka amawulire nga senkagale wekibiina ki NUP, Robert kyagulanyi atwala ekiwandiiko ekikwata ku kutyoboola eddembe lyóbuntu mu ggwanga eri abekibiina kyámawanga amagatte.

Mu kwogerako ne bannamawulire omumyuka wa katikiro ow’okubiri owek. Twaha kaawaase, asaasidde nyo bannamawulire olwokutulugunyizibwa kwe bayitamu ensagi zino wakati mu kukola emirmu gyabwe

Asabye bannamawulire baweebwe ekitiibwa ne ddembe lyabwe basobole okutukiriza obuvunanyizibwa bwabwe.