Amawulire

Buganda ekyabanja

Buganda ekyabanja

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda buzeemu okukuba omulanga eri gavumenti eya wakati, okutukiriza obweyamu bwabyo okuzza ebyaffe Ebikyasigalidde.

Ebyobugagga ebyogerewako kuliko ettaka, ebizimbe nebirala, gavumenti eya wakati byeyatwala mu mwaka gwa 1966, Obote bweyali alumbye olumbye Olubiri.

Okussinziira ku Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, Buganda ekyabanja ebintu ebiwerako okuli nensimbi, ebypa bye ttaka okugeza okutudde ekizmbe kya King Fahad plaza ku Kampala road, nebirala.

Waddenga ebimu byakomezebwawo, agambye nti wakyaliwo ebiralala bingi ebikanadlirirdde nga tebibaweebwa, waddenga gavumenti ezze ebaubiza okukikola.

Mungeri yeemu Kamala byonna, yalabudde ku banatu abatobeka ebyobufuzi mu ntekateeka yobwakabaka eya ‘Mwanyi terimba’ nekigenederwa okujigotaanya.

Agambye nti entakateeka eno yankulakulana, etetaaga kujogerera mafukuule.