Amawulire

Buganda egaddewo wofiisi zonna

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2020

No comments

Bya Shamim Natebwa ne Ruth Anderah

Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nga bwebugadde wofiisi zaabwe zonna okutukira ddala nga 14 mu mwezin ogujja ogwa April 2020.

Kino kirangiriddwa Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, ngasinzidde ku kitebbe kyobwakabaka e Bulange Mengo.

Agambye nti abakozi abamu bagenda kwawulwa, nga baakudda ku mirimu 14 omwezi ogujja ate abalala bakomewo oluvanyuma lwe nnaku 32 wansi wentekateeka ya gavumenti gyelanagirira.

Kati agambye nti abakozi wakwogerezeganyanga nabo okuyita ku mikutu muyunga bantu.

Wano era azeemu nakubira abantu ba Ssabasajja omulanga wonna webali okwekuuma nokugoberera ebiragiro bya gavumebnti.

mungeri yeemu ministry eyabakozi ba gavumenti eriko ekiwandiiko kyefulumizza, mwebalagidde wofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti okuggalawo.

Kino abakulu bagambye kigendereddwamu okugoberera ebiragiro bya gavumenti, mu kawefube wokulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.

Kati omwogezi wa wofiisi ya ssbawaabi, alagidde abakozi bonna okudda ewaka banabayita embeera bwenaaba eteredde.

Wabula bbo abakulira ebitongole byenjawulo namatabi balagiddwa, okusigala nga bagenda ku mirimu.