Amawulire

Bonna basome ejjiddwa mu g’obwa nnanyini

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

children in class

Mu kawefube w’okukendeeza ku nsimbi ezisaasanyizibwa, abayizi b’amasomero abasasulirwa State House bakutwalibwa mu masomero ga gavumenti.

Akola kui nsonga eno mu state house , Lucy Nakyobe yategeezezza akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti nga bwebasazeewo bwabati.

 Abo bokka abali mu bibiina ebigenda okutuula ebibuuzo ebyakamalirizo bebagenda okusigala mu massomero gyebali.

Agamba abazadde b’abaana bano bategezeddwa ku nsonga eno bukyanga mwaka guno gutandika.