Amawulire

Bobi Wine ne Winnie Kiiza boogedde ku Nambooze

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Shamim Nateebwa

File Photo: Nambooze nga yogeera

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palament Winnie Kiiza avumiridde okukwatibwa kwomubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze, ngagambye nti kigendererwamu kuwabya kunonyereza ku nfa yabadde omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga ne muganda we Saidi Buga Kongo.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku poliisi ya Jinja road mu Kampala, Nambooze gyebasoose okumugalira Kizza agambye nti ku bantu bonna teyandibadde Nambooze okukwatibwa ku butemu bwa Abiriga.

Agamby nti luno lukwe okuyunga omubaka ku butemu obwaliwo wabulanga agamba nti ssi kituufu.

Nambooze yakwatiddwa okuva mu maka ge e Mukono nga mu kiseera kino bamugalidde ku poliisi e Nagaalama, nga poliisi egamba nti yekuusa ku butemu bwa Abiriga.

Ate omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu adduukiridde ba Imam b’emizigiti gyonna egiri mu gombolola ye Nnangabo e Kasangatui nebintu byokusibukirirako.

Bw’abadde abakwasa ebintu omubadde omuceere, sukali, amatooke nebirala asabye abantu obutava ku mulamwa nokuwubisibwa kwa gavumenti.

Ono ayogedde ku kukwatibwa kwomubaka Nambooze okuwagala okuwubya egwanga.

Era asabye abasiraamu okusigala obumu nga bwebabadde mu kisiibo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *