Amawulire

Bobi ayanukudde ku byokutwala abaana ebweru

Bobi ayanukudde ku byokutwala abaana ebweru

Ivan Ssenabulya

January 7th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akulembera ekibiina kya NUP, era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine avuddeyo okwanukula abamukolokota, ku kyeyakoze okutwala abaana be ebweru we gwanga.

Ebifanayi bikedde kusasanira ku mikutu muyunga bantu, ngabaan ba Kyagulanyi bafuluma egwanga, nga kigambibwa nti bagenze mu gwanga lya America.

Bino webijidde ngokulonda kwa bonna kukubye koodi kwa wiiki ejja nga 14.

Wabula Bobi Wine, afulumizza ekiwandiiko okuyita ku mukutu gye nagamba nti famile ye ebadde ewangaliira mu kutya okumala emyaka 3, baalinga basibe mu nsi yeaabwe.

Agambye nti waliwo ababadde balondoola abaana be neku masomero, nga yagezaako nokubakyusiza emmotoka, nabakyusa amasomero naye embeera netakyuka.

Agambye nti abadde yafunye amwulire amekusifu nti waliwo olukwe olulukibwa okutuusa obulabe ku bantu be.

Agambye nti yawabulwa, abamusingako nti atwale famile ye emitala wamayanja.

Wabula Bobi Wine, anenyezza abakola ku bantu abafuluma nokuyingira egwanga olwokweyisa mungeri etayolesa bukugu mu mirirmu gyabwe, bwebasazeewo okusasanya ebifananyi byabaana be.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *