Amawulire

Bobi alumirizza NBS TV okwetabba mu kubba akalulu

Bobi alumirizza NBS TV okwetabba mu kubba akalulu

Ivan Ssenabulya

January 31st, 2021

No comments

By Ritah Kemigisa

Akulembera ekibiina kya NUP era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi awandiise ebbaluwa eraga okwemulugunya kwe eri ab’omukutu gwa NBS TV, ngabalumiriza okwetaba mu bubbi obwetobeka mu kulonda kwa bonna.

Agambye nti mu mawulire gebalaganga ku lunnaku lwokulonda ne nnaku ezadirirra, bafulumyanga ebibalo ebikyamu, ebitalaga wonna webyali biva nti Yoweri Museveni yakulembedde natuuka n’okuwangula.

Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, agambye nti ekkobaane lino liwa egwanga ekifananyi ekikyamu nti yawangulwa, nekigendererwa okuzikiza okusalawo kwabanna-Uganda.

Bino byonna Kyagulanyi agamba nti byasoboka, kubanga baali bajeeko yintaneti song neba agenti be baali babagalidde mu buddukulu, nga nebyava mu kulonda byebalaganga byali tebikwatagana nebyo abantu byebalonda.

Agamba nti byebalaganga nokutuusa kati tebimanyikiddwa nibuko yaabyo, kalenga betaba mu kubba akalulu nokwolesa kyekubiira.

Bobi Wine agamba nti NBS yalina ekifo oba tally center eyabwe, abemikutu emiralala kyebatakirizibwa kukola.

Entekateeka zaffe, okufuna abakulira NBS okwanukula ku byebabalumiriza zibadd tezinavaamu kalungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *