Amawulire

Bizonto bazeemu nebakwatibwa

Bizonto bazeemu nebakwatibwa

Ivan Ssenabulya

March 5th, 2021

No comments

Bya Daily Monitor

Abakozi b’oku Radio 4 era bakazanyirizi, Bizonto bazeemu nebakwatibwa.

Abakwate kuliko Mercel Mbabali, Simon Peter Ssabakaki, Julius Sserwanja ne Gold Kimatono baali bakwatibwa mu July womwaka oguwedde 2020 olwemizannyo gyabwe, abobuyinza gyebagamba nti jisiga obukyayi nokwawulayawula mu bantu.

Kati omwogezi wekitebbe kyaba mbega e KIbuli Charles Twine, akakasizza nti bazeemu nebakwatibwa, era bagenda kusimbibwa mu maaso gomulamuzi ku kooti ya Buganda Road.

Agambye nti okukwaibwa kwabwe ku mulundi guno, era kwekuusa ku misango egyabagulwkao omwaka oguwedde.

Bano ebyabakwasa, bakola olukalala lwabantu abali mu bifo ebinene mu gwavumenti okuva ku mukulembeze we gwanga Yoweri Museveni, omuddumizi wamagye ge gwanga Gen David Muhoozi, nabalala, nga bijuddemu ba gwanga limu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *