Amawulire

Besigye, Muwanga Kivumbi bakwatiddwa

Ali Mivule

March 6th, 2013

No comments

Besigye under arrestKivumbi

Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr Kiiza Besigye n’omubaka we Butambala Muwnaga Kivumbi bakwatiddwa

Besigye akwatiddwa nkya ya leero nga yakafuluma amaka ge e Kasangati.

Poliisi ng’eduumira Afande Chemonges temukkirizza yadde okumalako awaka we n’emuyoola

Mu kadde kano akuumirwa ku poliisi y’oku luguudo lwe Kiira e Kamwokya.

Yye omubaka Muwanga Kivumbi akwatiddwa bw’abadde agenze okukyalira loodi meeya Erias Lukwago aggaliddwa mu maka ge e wakaliga.

Kivumbi akwatiddwa ne meeya we Kakiri, Mohammed Bantubalamu.

Yyo embeera e Wakaliga ekyaali mbi ddala ng’abawagizi ba loodimeeya balwanagana ne poliisi gyebakuba amayinja .

Mu kuwanyisiganya kuno, omusasi waffe Moses Ndhaye alumiziddwa bw’akubiddwa ejjinja ku mutwe.

Ebisingawo tega 90.4 Dembe FM…Omuziki n’ebikuzimba