Amawulire

Besigye awandiisiddwa

Besigye awandiisiddwa

Ali Mivule

November 4th, 2015

No comments

File Photo:Abawagizi ba Besigye nga bava e'Nambooze

File Photo:Abawagizi ba Besigye nga bava e’Nambooze

Kyaddaaki akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti  Dr. Kizza Besigye asunsuddwa oluvanyuma lw’okulwa mu kkubo olwa namunji w’omuntu abadde amulindiridde ..

Nga ayogerako eri bannamawulire, Besigye ategezezza nga bw’atalina mpalana ku kakiiko k’ebyokulonda wabula wakugenda mu maaso n’okwongera okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda wamu n’akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde akatali mu bigambo wabula mu mateeka.

Besigye agambye nti olugendo lw’atandise olunaku olwaleero lugendereddwamu kununula bannayuganda wabula nga yetaga okumuwagira.

Besigye agamba kyekiseera okuzza obwenkanya mu ggwanga n’okuzza obuyinza mu mikono gyabannayuganda.

Besigye awerekeddwako ebikumi n’ebikumi by’abawagizi okuviira ddala ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi okutuuka ku kisaawe e Namboole.

Besigye awerekeddwako ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj. Gen. Mugisha Muntu,omubaka omukyala owa  Kampala Nabilah Naggayi n’abalala.