Amawulire

Besigye asunsulwa lwa kusatu oluggya

Besigye asunsulwa lwa kusatu oluggya

Ali Mivule

October 26th, 2015

No comments

Besigye arrivesAkutte bendera ya FDC ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kiiza Besigye wakukakasibwa nga 4 omwezi ogujja.

Kidiridde akakiiko okugaana okusaba kwa FDC okwasooka nti Besigye asunsulwe nga 3 ku ssaawa nya ez’oku makya

Essaawa zino zibadde zikayaanirwa aba FDC ne NRM kyokka ng’akakiiko kasazeewo dda nti NRM yeeyasooka okusaba

Amyuka akulira akakiiko kano Michael Kabaziguruka agambye nti kati Besigye wakuwandiisibwa mu ssaawa ttaano n’oluvanyuama akube olukungaana lwe olusooka mu kisaawe e Nakivubo

Mu ngeri yeemu era Kabaziguruka agambye nti bali mu ntegeka za kamyufu era bakulangirira akadde konna.

Poliisi etandise okwetegereza bu vidiyo okuva ku bu TV bw’ekibuga okuzuula baani ababunyizza ebipande mu kibuga enkya ya leero.

Enkya ya leero, waliwo ebipande ebitimbiddwa mu kibuga nga birabula bannayuganda okwetaba mu kulonda nga tewali nongosereza mu mateeka ga kulonda.

Ebipande bino bitimbiddwa mu bifo nga ku kijjukuzo ky’amefuga, Constitution Square ne KPC along Kampala Road.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti ekikolwa ky’okumansa ebipande kya butiitiizi era tekibakanga