Amawulire

Besigye agamba nti Muhoozi asaanye okuvunanibwa

Besigye agamba nti Muhoozi asaanye okuvunanibwa

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2021

No comments

Ba Ritah Kemigisa

Eyali pulezidenti wekibiina kya FDC, era eyavuganyako ku bukulembeze bwe gwanga okumala emirundi 4 Dr Kiiza Besigye avumiridde eneyisa y’omuddumizi wegye erikuuma omukulembeze we gwanga, era mutabani wa pulezidenti Museveni Gen Muhoozi Kainerugaba.

Muhoozi azze asinziira ku twitter, okukasuka ebigambo eri akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine, nga yewera nga bwebagenda okumuwangula mu kulonda okubindabinda.

Wabula obubaka bwazze awandiika ku twitter, bubaddenga bunyiiza bangi, nebatuuka okuwanda omuliro.

Kati Besigye agambye nti enneyisa ya Muhoozi esaza ngomukuuma ddembe.

Agambye nti ebigambo bye era bigerageranyizika ku kulya mu nsi olukwe, era asaaanye okuvunanibwa.