Amawulire

Besigye agamba nti Gavt eremereddwa okulwanyisa Covid lwa butateekateeka Bulungi

Besigye agamba nti Gavt eremereddwa okulwanyisa Covid lwa butateekateeka Bulungi

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Eyaliko senkagale wekibiina kya FDC era nga yesimbawoko ku ntebbe eyomukulemebeze weggwanga emirundi 4 Dr Kizza Besigye agamba nti gavumenti yakusanga obuzibu bunene nyo mu kulwanyisa ekirwadde kya covid-19.

Ono agamba nti singa gavt tevaayo nantekateeka nnungamu kungeri gyelwanyisamu ekirwadde ekirwadde kirabika sikyakuva mu ggwanga lino.

Besigye okwogera bino asinzidde ku mukutu gwa mawulire ogumu wano mu ggwanga nagamba nti engeri gavt gyeyalangirira omuggalo ogwokubiri yalibaddewo ne ntekateeka ennungamu okulaba nti bannauganda we banavira mu muggalo ngembeera eze munteeko.

Ayagala wabeewo okugema ekirwadde okwekikungu mu ggwanga lyonna emibiri gisobole okutekebwatekebwa okulwanyisa akawuka ka corona singa kabalumba.

Ono mungeri yemu alaze obwenyamivu okulaba nti yadde nga gavt yatekawo ebifo awajanjabirwa abalwadde ba covid abali obubi ate tewali bakugu basobola ku bakolako.