Amawulire

Bebagoba kuttaka balagyanidde pulezidenti abayambe

Bebagoba kuttaka balagyanidde pulezidenti abayambe

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abatuuze ku kyalo Kasijjagirwa Kigamba mu district y’e masaka gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw,okulumbibwa ekibinja kyabantu nebatematema ebirime byabwe kko saako okukoona enyumba zaabwe.

Okusinzira ku batuuze Kitegerekese nti entabwe evudde ku nkayana z’ettaka eriwerako yiika mukaaga nga bagamba nti lyali lya Jjaaja bwe Luuka Kulima eyalisengako mu myaka gye 30 kyokka oluvanyuma lw’okufa omu kubajjwa amanyiddwa nga Kalega January nakozesa olukujukuju okwagala okulyeza.

Bano balumiriza abasaaye ebirime byabwe nokumenya enyumba zaabwe okubanyagulula ebintu byabwe omuli nensimbi enkalu era nga mukiseera kino bagala pulezidenti aveeyo ayingire munsonga zettaka lino.

Omwogezi wa police mu bukiikadyo bw’eggwanga Kangave Paul ategezeeza nti bamaze okugomba obwaala mwabo abenyigidde mu kwonoona ebintu by’abatuuze nga kuno kuliko n,omuserikale waabwe eyabawerekeddeko.