Amawulire

Bba w’omugenzi Robinah Ssentongo afudde

Bba w’omugenzi Robinah Ssentongo afudde

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2020

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abantu be Kyotera, baaguddemu ekyobero, bba w’omugenzi Robina Ssentongo Joseph Ssentongo naye bweyafudde.

Omugenzi Ssentongo abadde mugonvu okumala akaseera nga teyasobola nakuziika ku mukyala we, eyali omubaka omukyala owe Kyotera.

Okusinziira ku Steven Zziwa, eyali omuyambi w’omugenzi Robina, Omugenzi Ssentongo yali mulwadde nga mukyala we tanafa kyokka okufa kwa mukyala we kwayongera okimugondeza ddala ngabadde ajanjabirwa waka.

Wabula ono agambye nti omulwadde teyafudde COVID-19 nga bwebyogerwa.

Omugenzi agenda kuzikibwa olwaleero mu maka ge Lwankoni mu district ye Kyotera.

Ono ye muntu owokusattu, okufa mu maka gano, ngomulala ye Dorothy Mikasa, eyali muganda wa Robinah Ssentongo, eyali omusomesa ku ttendekero lya Uganda Christian University nga yafa COVID-19.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *