Amawulire

Bazadde b’omwana alina ebituli 3 ku mutima bagala buyambi

Bazadde b’omwana alina ebituli 3 ku mutima bagala buyambi

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bazadde Bomwana alina ebituli 3 ku mutima balajanidde abazira kisa okubaddukirira basobole okumutwala e buyindi alongosebwe oluvanyuma lwa basawo e Mulago okubategeza nti embeera tebagenda kugisobola.

Maama w’omwana ye Faridah Nakintu ate taata ye Abubakari Kalule, betusanze mu maka gaabwe e Kawaala kunjegoyego zekibuga Kampala nga basobedwa.

Omwana abéwanisiza emitima ye Swabarani Nakintu nga w’amyaka gumu ne kitundu. Batunyonyodde nti bategeera omwana awezeza omwaka nti alina ebituli ku mutima oluvanyuma lwokubeera mu bulamu obuteyagaza ekyabawaliriza okumutwala mu ddwaliro.

Taata wómwana ono agamba nti babasaba doola 10000 wabula nga tebalina wakuzigya kuba ye musomesa ate amasomero gaggalibwa.

Maama wómwana ono Nakintu naye alajanidde buli alina kyalina okubasuula omukono