Amawulire

Bawamba abantu nebabatta

Ali Mivule

April 3rd, 2013

No comments

ssenkumbi

Abasajja 2 ababadde bawamba abantu nebabanyagulula ate nebabatta bakwatiddwa

Robert Muwonge omuvuzi wa spesulo e Makindye ku petro city ne Sam Kitendwa beebakwatiddwa nga bagezaako okutta Samuel Ogwa okuva e Lira

Kigambibwa okuba nga ababiri bano balina ogubinja gwebakolagana nagwo nga bawamba abantu kyokka ate nebabatta n’emirambo gyaabwe nebagisuula mu bitoogo

Omwogezu wa poliisi mu kmapala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti webabakwatidde nga bakabba emitwaalo 80 ku Ogwal era nga babadde  bagaala kumutta kyokka nga yayise ku stage ya boda n’akuba enduulu olwo aba boda boda nebagoba emmotoka okutuusa lwebagikutte era bwebatyo nebamuwonya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *