Amawulire

Basatu bakwatiddwa lwa bubbi

Basatu bakwatiddwa lwa bubbi

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2019

No comments

Bya Mbogo Sadat

Poliisi mu district y’e Butambala eriko ab’oluganda basatu bekutte ne ggalira ku bigambibwa nti babbye ebintu by’omunju ne ennyumba ne bajikumako omuliro.

Bino bibadde Ku kyalo Kalamba mu ggombolola y’e Kalamba mu disitulikiti ye butambala Ku ssaawa nga kkumi mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Bano okuli Farouk Mutumba 20, Faizo Ssali 21 n’omuwala Aisha Nakabugo 18 babakutte ne baggalirwa mu kadukulu Ka police e Kabasanda nga bagambibwa nti babbye ebintu by’omusawo w’eby’obulamu mu ggombolola y’e Kalamba Yasin Mpemba era okwagala okubuza obujulizi, ennyumbaye ne bajiteekera omuliro.

Akulira police e Kabasanda Lillian Nafuna agambye bano bakagulwako emisango okuli ogw’okubba n’okwokya ennyumba era bakuvunaanibwa mu mbuga ez’amateeka ng’okunonyereza kuwedde bulungi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *