Amawulire

Basalirwa wakuvaayo ne bbago ly’tteeka kungabana yénsimbi zébibiina

Basalirwa wakuvaayo ne bbago ly’tteeka kungabana yénsimbi zébibiina

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya Justice Forum (JEEMA) Asuman Basalirwa era nga yemubaka we kibuga kye Bugiri mu lukiiko lwe ggwanga olukulu, asabye gavumenti okulaba nti ebibiina byobufuzi byonna bifuna omutemwa gwe nsimbi ogwekyenkanyi mu kulonda okujja.

Bino abyogedde ayogerera mu lukungana olutegekedwa ekibiina ki Alliance for Finance Monitoring mu kukuba tooki kungeri ensimbi gye zatambuzibwamu mu kalulu akakagwa.

Basalirwa agambye nti engabana yensimbi etali ya bwenkanay eri ebibiina byobufuzi mu biseera byokulonda eremeseza abali ku ludda oluvuganya okwenyigira muntekateka ezirubirira okuletawo democracia mu ggwanga.

Agambye nti singa tewabaawo kikyuka wakuwalirirzibwa okuvaayo ne bbago lye tteeka erirubirira okuleeta ennongosereza mu tteeka erya political parties and organisations Act okulaba nti minisitule eye byensimbi na kakiiko ka byokulonda bagaba ensimbi zino kyenkanyi nga tteeka bwerigamba.

Mungeri yemu ye ssabawandiisi we kibiina kya DP Gerlad Siranda, agambye nti bakuddukira mu kkooti etaputa ssemateeka ebayambe kunsonga eno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *