Amawulire

Basajjabalaba asekera mu kikonde

Ali Mivule

May 8th, 2013

No comments

Basajja in court

Kooti etaputa ssemateeka eyimirizza eby’okuwozesa naggagga Hassan Basajja balaba

 

Kidiridde Basajja okuddukira mu kooti eno  ngawakanya eby’okumuwozesa mu kooti ekola ku gy’obukenuzi.

Basajja agamba nti tewali nsonga lwaki ate aggulwaako emisango gyegimu ate egyagobwa mu kooti ya Buganda road.

Emisango egivumuvunaanibwa gya kwepena misolo n’okujingirira ekiwandiiko kya kooti.

Abalamuzi abasatu abakulembeddwaamu Steven Kavuma, Augustine Nshiimye ne  Remmy Kasule bagambye nti ekiwandiiko kya basajja kilimu ensonga enkulu ezeetaga owkekeneenyezebwa kooti.

 

Kooti era eragidde nti paasipoota ya basajja emuddizibwe era akome n’okulabikako eri poliisi agenda wa muwandiisi waayo.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *