Amawulire

Baryamureeba asuubizza federo

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Eyesimbyewo ku bwanamunigina Prof Venancious Baryamureeba, asuubizza enkola ya Federo kebukeera nga alidde akalulu k’omukulembeze w’eggwanga.

Bino Baryamureba abyogeredde Jinja gy’akubye enkungaana 2 mu paaka ya Taxi e Jinja ne mu Bugembe Town Council.

Agambye kino kyakusobozesa gavumenti ez’ebitundu okuganyulwa buterevu mu by’obugagga bw’eggwanga.

Ono era alabudde abatuuze b’e Jinja obuatasibibwa kantuntunu nabulabolabo abalala abesimbyewo bwebabaletera kubanga byakukosa ebiseera by’eggwanga ebyomumaaso.