Amawulire

Bannyini Masomero agóbwannanyini bakkiriziganyiza okugagulawo

Bannyini Masomero agóbwannanyini bakkiriziganyiza okugagulawo

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatandisi bamasomero ag’obwannanyini mu ggwanga wansi wékibiina kyabwe ki Proprietors of Private Educational Institutions’ Association in Uganda, bakkiriziganyiza okuggulawo amasomero nga gavumenti bweyalagira yadde nga babadde bakomba kwerima nti sibakugagula singa gavt tekola ku byetaago byabwe.

Omukulembeze weggwanga yali yabasuubiza okubawa obusse 2 nekitundu basobole okwedabulula engeri gye bakosebwa ekirwadde kya covid-19 ezitabaweebwanga na buli kati, kko nensonga endala zebaali bawadde nti sibakugulawo nga tezikoledwako.

Wabula munsisinkano gye babaddemu ne minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu John Chrysostom Muyingo, abakakasiza nti gavumenti yakutukiriza ebisuubizo byonna naye bagule amasomero abaana basome.

Bano mu ssabiiti ewedde era banenya gavt olwobutabawa byava mu kunonyereza bwe bagula amasomero eri abayizi abali mu mwaka ogusembayo kungeri gye basobola okusoma wakati mu mbuya ye kirwadde kya covid.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *