Amawulire

Bannekolera gyange bafunye essuubi

Bannekolera gyange bafunye essuubi

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Bannakolera gyange basanyukidde entekateeka ya gavt mwegenda okuyita okunogera eddagala ekizibu kyobutale bwebyamaguzi némiziziko emirala egitangira ebyensubuligana mu mawanga gannamukago.

Ssabawandiisi wómukago gwa The new East African Community Dr. Peter Mutuku Mathuki yeyamye okuwagira bannekolera gyange okuyitimusa ebyensubuligana byabwe mu mawanga ga East Africa.

Ono yeyamye okukyala ku bitundu bye nsalo 6 okugonjoola obutakanya obuliwo obusibye ebyensubuligana mu mawanga gannamukago.

Bwabadde ayogera ku kulondebwa kwa Dr Mutuku’s , akulira ekibiina kya  Private Sector Foundation Uganda, Gideon Badagawa alaze essuubi nti singa byayogedde anabiteeka mu nkola bannabyabusubuzi bakuganyulwa nyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *