Amawulire

Bannayuganda bafiirwa olw’akalippagano k’ebidduka

Bannayuganda bafiirwa olw’akalippagano k’ebidduka

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ab’ekibiina kya DP bavuddeyo okw’emulugunya ku kalipagano kebidduka, akasusse mu Kampala naddala budde bwakawungeezi.

Bweyabadde ayogera ne banamwulire, omukwanaganya wemirmu gyobwegassi kyebatuuma Dp Bloc Mike Mabike agambye nti kino kiraga nti gavumenti eremereddwa okulungamya ebyentambula.

Mu kino agamba nti abantu bafiirw abingi olwobudde bwebamala ku makubo, mu kalipagano kebidduka.

Kati Mabike asabye gavumenti ebyokugula ennyonyi endala ebiveeko, bateeke amaanyi mu kulongoosa ebyentambula mu kibuga Kampala nebitundu ebyetoloddewo.

Okusinziira ku alipoota ya World Bank, Uganda efiirwa obukadde bwa $ 800, olwemirmu egigotaana ngabantu bali mu kalipagano kebidduka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *