Amawulire

Bannamawulire balumbye Ssabapoliisi

Bannamawulire balumbye Ssabapoliisi

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Bannamawulire olwaleero bawaddeyo okwemulugunya kwabwe eri omuddumizi wa poliisi mu ggwanga nga balaga obutali bumativu bwabwe eri poliisi kungeri gyebakwatamu nga bakola emirimu gyabwe,

Bwabadde awaayo okwemulugunya kwabwe omukulembezze wa bannamawulire mu kibiina kyabwe ekya Uganda Journalists’ Association  Bashir Kazibwe asabye wabeewo okukangavula abasirikale bonna abagambibwa okuba bannamawulire abaali bakwata ebigenda maaso ku ssetendekero wa Makerere gye buvudeko abayizi bwe baali bekalakaasa.

Mungeriyemu asabye poliisi okuyisa ekiragiro ekikugira abasirikale okukuba bannamawulire nga bakola emirimu gyabwe .

Kazibwe ategeezeza nti poliisi bwegaana bino mu nkola bakusigala nga basibidde poliisi ekikookolo.

Ku nsonga yemu atwala ekibiina kya bannamawuliire ekitabakanira eddembe lyabwe ki Human rights network for journalist Uganda, Robert Ssempala  asabye poliisi okuta bannamawulire  2 abakwatidwa amakya galeero  awatali ku bagulako musango.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *