Amawulire

Bannamawulire bafuniddwa bannamateeka

Bannamawulire bafuniddwa bannamateeka

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ab’ekitongole kya Human Rights Network for Journalists Uganda ekirwanirira eddembe lya bannamawulire bavuddeyo n’entekateeka enakakasa obukuumi eri bannamawulire.

Ssenkulu w’ekitongole kino Robert Sempala, agambye nti bayungudde bannamateeka okwetoloola eggwanga, abanayambako bannamawulire obutatulugunyizibwa okuyita mu biseera by’okulonda.

Mu birala agambye nti bagenda kusomesa abantu ba bulijjo, abakulembeze okuli ba RDC n’abalala kungeri gyebayinza okukolera awamu.