Amawulire

Bannamawulire 3 bakwatiddwa, omu ayimbuddwa

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

 journalists arrested

Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire, Mulindwa Mukasa akwatiddwa

Ono abadde ku poliisi ye wandegeya gy’abadde agenze okukola amawulire ku bannamawulire abalala ababiri abakwatiddwa nebaggalirwa ku poliisi ye wandegeya

Kuno kwekubadde Halima Athumani owa Uganda Radio network  ne omugagga Kamagu owa Top Radio

Omugagga Kamagu yeeyasoose okukwatibwa n’aggalirwa ku poliisi ye wandegeya ate nga yye Halima akwatiddwa bw’abadde akola amawulire g’okukwata munnamawulire munne.

Wabula yye amyuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agamba nti ebikwasizza kamagu bikwatagana n’ebigambo byeyayogera ebikuma mu bantu omuliro sso ssi kukyaaza Loodimeeya

Bboa balwanirira eddembe lya bannamawulire bavumiridde ky’okukwata bannamawulire bano.

Akulira ekibiina kya Human rights network for journalists, Robert Sempala agamba nti kikyaamu okukuba bannamawulire abatalina musango nga bakola mirimu gyaabwe