Amawulire

Bannamateeka bayise olukiiko olwamangu

Bannamateeka bayise olukiiko olwamangu

Ivan Ssenabulya

January 6th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Bannamateeka wansi wekibiina ekibagatta, Uganda Law Society basabye nti wongera okutegekebwawo enkiiko nabeyokwerinda okukaanya, okusobola okumalawo ekikwata bananamteeka ekigenda mu maaso mu gwanga.

Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ewomuwandiisi wa ULS Rita Namakika, bagenda kutuula eggulo lya leero, okuyita ku mutimbagano wakati we ssaawa 8 n’ekitundu ne 10.

Mu bimu ku biri ku mwanjo agambye nti bagenda kwongera okusala entotto, ku nsonga eno.

Bino webijidde nga munnamateeka Nicholas Opiyo, akulira ekitongole kya Chapter four Uganda gyebuvuddeko yakwatibwa navunanibwa emisango gyobufere bwokwoza mu ssente.

Ono yakwatibwa ne Anthony Odur, Simon Peter Esomu, Dakasi Herbert ne Hamid Tenywa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *