Amawulire

Bannamateeka ba Kyagulanyi bawaddeko aba NRM ku mpaaba yaabwe

Bannamateeka ba Kyagulanyi bawaddeko aba NRM ku mpaaba yaabwe

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Bannnamateeka ba Robert Kyagulanyi akulembera ekibiina kya National Unity Platfor batutteyo empaaba yaabwe eri aba NRM, omuli ebikwata ku musango gwebatutte mu kooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Yoweri Museveni.

Kino kidirirdde Museveni okulagira banamateeka bekibiina aba KK advocates okumukwatira empaaba eno.

Kati bananamteeka ba Kyagulanyi babadde bakulembeddwamu Anthony Wameli ngempaaba bajikwasizza Isingoma Esao okuva mu KK advocates.

Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba naye abaddewo wabula nalaga obumalirivu okukwewozaako nokulwanirira obuwanguzi bwa Museveni.

Bino bibadde wabweru wa kooti ensukulumu e Kololo.

Kino kyadirirdde, bannamateeka ba Kyagulanyi okunoonya Museveni olunnaku lwe ggulo okumuwa ku mpaaba eno, naye nebabula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *