Amawulire

Bannakyewa basabye gavumenti evve kunsimbi z’amafuta

Bannakyewa basabye gavumenti evve kunsimbi z’amafuta

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ebibiina by’obwannakyewa bisabye gavumenti esuule mu kaseero ekirowoozo eky’okwagala okugya ensimbi obuwumbi 450 okuva mu nsawo ya mafuta

Ng’ayogerako ne bannamawulire mu Kampala akulira ekibiina ki Transparency International Peter Wandera agamba nti entekateeka eno ekontana netteeka eryayisibwa mu 2015 erya Public Finance Management Act nga lino lirambika bulungi engeri ensimbi eziva mu mafuta gyezirina okukwatibwamu.

Ono anyonyodde nti akatundu ake 66 mu tteeka lino kalagira okutekebwawo akakiiko akamanyidwa nga Investment Advisory Committee okuwa amagezi minisita w’eby’ensimbi ku bikwata kunsimbi eziva mu mafuta

Wandera agamba nti akakiiko kano okuva mu 2015 tekatandikanga kola nga nolwekyo gavumenti esanye esooke eleke ebyokugyayo ensimbi zino

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *