Amawulire

Bannakyewa baddukidde mu Kkooti ku bye dagala lya Covidex

Bannakyewa baddukidde mu Kkooti ku bye dagala lya Covidex

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekibiina kyobwannakyewa ki Advocate for the People (AFP) kiwandikidde kkooti enkulu nga kyagala eyise ekiragiro ekiragira ekitongole ekivunanyizbwa ku bye ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority kigyeko olukusa lwebaawa Prof. Patrick Ogwanga olwokukola nokutunda eddagala lya Covidex mu ggwanga lino.

Okuyita mu munnamateeka waabwe, Jude Mbabali, ssabawandiisi wékibiina kino eyaliko omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, bagamba nti Prof.Ogwanga talina lukusa ku ddagala lya covidex yalikola yeyambisa nsimbi za gavt ekifuula eddagala lino okuba erya gavt so si muntu omu ne university ye mbarara School of Science and Technology.

Bano Bagala aba NDA beddize obwannanyini bwe ddagala lino abawi bomusolo ensimbi za bwe azakozesebwa mu kukola eddagala basobole okuganyulwa.

Bannakyewa bagenze okuvaayo bwebati nga ne mussabiiti ewedde munnamateeka George William Alenyo yatute prof Ogwang mu kkooti kunsonga yemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *